Adiyisɛm 5 – AKCB & LCB

Akuapem Twi Contemporary Bible

Adiyisɛm 5:1-14

Nsɔwano Nhoma No

1Mihuu sɛ nea ɔte ahengua so no kura nhoma bi wɔ ne nsa nifa mu. Na wɔakyerɛw akyi ne anim nyinaa a wɔde nsɔwano ason asosɔw ano. 2Mihuu ɔbɔfo hoɔdenfo bi a ɔde nne kɛse kae se, “Hena na ɔfata sɛ ɔtew nsɔwano no na obue nhoma no mu?” 3Nanso wɔannya obiara a ɔwɔ ɔsoro anaa asase so anaa asase ase a otumi buee nhoma no mu hwɛɛ mu. 4Misui yiye, efisɛ wɔannya obiara a ɔfata sɛ obue nhoma no mu na ɔhwɛ mu. 5Afei ɔpanyin baako ka kyerɛɛ me se, “Nsu. Hwɛ! Gyata a ofi Yuda abusuakuw mu a ɔyɛ Dawid aseni adi nkonim, na obetumi atetew nsɔwano ason no na wabue nhoma no mu.”

6Afei mihuu Oguamma bi sɛ ogyina ahengua no mfimfini a ateasefo baanan no ne mpanyimfo no atwa ne ho ahyia. Wɔhwɛ a na Oguamma no sɛ nea wɔakum no. Na ɔwɔ mmɛn ason ne aniwa ason a egyina hɔ ma Onyankopɔn ahonhom ason no a wɔasoma wɔn aba wiase no. 7Oguamma no kogyee nhoma no fii nea ɔte ahengua so no nsa nifa mu. 8Ɔyɛɛ saa no, ateasefo baanan no ne mpanyimfo aduonu anan no butubutuw Oguamma no anim. Na wɔn mu biara kura sanku ne sika ayowa a aduhuam ayɛ no ma a ɛyɛ ahotefo mpae. 9Wɔtoo dwom foforo se,

“Wofata sɛ wofa nhoma no

na wotew ne nsɔwano no.

Efisɛ wokum wo,

na ɛnam wo wu so ma wɔtɔɔ nnipa fii aman ne

mmusuakuw ne nkurɔfo ne kasa nyinaa mu maa Onyankopɔn.

10Wɔayɛ wɔn asɔfo ahemman sɛ wɔnsom yɛn Nyankopɔn

na wobedi asase so hene.”

11Bio mehwɛe, na metee abɔfo mpempem nka. Na wɔatwa ahengua no ne ateasefo baanan no ne mpanyimfo no ho ahyia 12reto dwom dennen se,

“Oguamma a wokum no no fata sɛ

ogye tumi, ahonya, nyansa ne ahoɔden

ne nidi ne anuonyam ne nkamfo!”

13Na metee sɛ abɔde a wɔwɔ ɔsoro, asase so, asase ase ne abɔde biara a ɛwɔ po mu ne abɔde biara a ɛwɔ wiase nyinaa reto dwom se,

“Nhyira ne nidi ne anuonyam ne tumi,

nka nea ɔte ahengua no so ne Oguamma no,

daa daa!”

14Abɔde anan no gyee so se, “Amen!” Na mpanyimfo no butubutuw hɔ somee.

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 5:1-14

Omuzingo gw’Ekitabo n’Omwana gw’Endiga

15:1 a nny 7, 13 b Ez 2:9, 10 c Is 29:11; Dan 12:4Awo ne ndaba omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga guwandiikiddwamu munda ne kungulu era nga guteekeddwako obubonero bw’envumbo musanvu. 2Ne ndaba malayika ow’amaanyi ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’abuuza nti, “Ani asaanidde okubembulula obubonero obusibiddwa ku muzingo gw’ekitabo guno alyoke aguzingulule?” 3Ne wataba n’omu mu ggulu newaakubadde ku nsi, wadde wansi w’ensi, eyayinza okugwanjuluza wadde okugutunulamu. 4Awo ne nkaaba amaziga mangi, kubanga tewaalabikawo n’omu eyasaanira okwanjuluza omuzingo newaakubadde okugutunulamu. 55:5 a Lub 49:9 b Is 11:1, 10; Bar 15:12; Kub 22:16Awo omu ku bakadde abiri mu abana n’aŋŋamba nti, “Lekeraawo okukaaba, kubanga, laba, empologoma ey’omu kika kya Yuda, ow’omu lulyo lwa Dawudi, yawangula, era y’ayinza okukutula obubonero omusanvu obw’envumbo n’okuzingulula omuzingo gw’ekitabo.”

65:6 a Yk 1:29 b Zek 4:10Ne ndaba nga ali ng’Omwana gw’Endiga ng’attiddwa ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’ebiramu ebina, ne wakati w’abakadde, ng’alina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, gy’emyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu eky’ensi. 75:7 nny 1N’asembera n’aggya omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka. 85:8 a Kub 14:2 b Zab 141:2Bwe yagukwata, ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso g’Omwana gw’Endiga ne bavuunama, buli omu ng’alina ennanga era ng’akutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kw’abantu abatukuvu. 95:9 a Zab 40:3 b Kub 4:11 c Beb 9:12 d 1Ko 6:20Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti,

“Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo,

n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula,

kubanga wattibwa,

omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika,

na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.

105:10 1Pe 2:5N’obafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga,

era be balifuga ensi.”

115:11 Dan 7:10; Beb 12:22Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi n’enkumi, n’enkuyanja nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka awamu n’ebiramu biri n’abakadde bali. 125:12 Kub 4:11Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Omwana gw’Endiga eyattibwa,

asaanidde okuweebwa obuyinza, n’obugagga, n’amagezi n’amaanyi,

n’ekitiibwa, n’ettendo n’okwebazibwa!”

135:13 a nny 3; Baf 2:10 b Kub 6:16 c 1By 29:11Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti,

“Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa,

n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga,

Emirembe n’emirembe.”

145:14 a Kub 4:9 b Kub 4:10; 19:4Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” N’abakadde ne bavuunama ne bamusinza.